Amawulire

Police ekutte omusajja asse mukazi we.

Innocent Kibwetere wa myaka 47 omutuuze ku kyalo Bujumbura mu muluka gwe Ruhangire mu district ye Kyegegwa, akwatiddwa police ku bigambibwa nti yasse mukazi we, ng’amulanga okukozesa enkola eza kizaalaggumba (family planning).

Kibwetere yeyakubidde mulamu we essimu n’amutegeeza nti yabadde asse mukyala we Kwikirize Ronious ow’emyaka 25, oluvanyuma lw’ennaku eziwerako ng’omulambo gwe agusibidde mu nju.

Kigambibwa nti omukyala yamutta nga 11 November,2022.

Kibwetere agamba nti mukyalawe abadde yavaamu olubuto gyebuvuddeko, kyokka wayiseewo ebbanga ttono n’asanga ng’amira empeke z’ekizaala ggumba.

Mu kiseera kino akuumibwa ku police ye Kazinga e Kyegegwa ng’okunoonyereza bwekugenda mu maaso.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top