Amawulire

Police etaddewo obukwakkulizo ku banaakuba ebiriroliro.

Ebifo 1430 okwetoloola eggwanga bimaze okuweebwa olukusa okutulisa ebiriroliro nga 31.12.2022, era nebiwebwa obukwakkulizo n’ebiragiro ebirina okugobererwa.

Police eragidde buli kifo awakubwa ebiriroliro wabeewo ebyuma ebirwanyisa omuliro, ssonga n’abantu abali okumpi n’amayumba awagenda okukubirwa ebiriroliro basabiddwa baleme kusigala mu mayumba.

Abakubi b’ebiriro balagiddwa okwegendereza amalwaliro omujjanjabirwa abantu, obutasembeza masimu webakubira ebiriro, n’obutabikubira kumpi n’amafuta.

Omwogezi wa police mu ggwanga Fred Enanga mu kwogerako ne bannamawulire mu Kampala, asabye abakuumaddembe okwetoloola eggwanga lyonna okulondoola obukwakkulizo obuteereddwawo.

.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top