Amawulire

Police eyimirizza okuvunaana abantu emisango gy’obwakirereesi

Police eyimirizza basajja baayo okwetoloola eggwanga lyonna obutaddamu kukwata bantu ku misango gy’obwakirereesi, era nti omuserikale anaakikola wakuvunaanibwa mu mateeka.

Okulabula kuno kuzze oluvannyuma lwa kkooti etaputa ssemateeka okusazaamu emisango gyonna egyekuusa kubwa kirereesi, nga ensalawo ya kooti eno yaliwo ku lwokutaano lwa wiiki ewedde.

Omwoogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga mu nsisinkano ne bannamawulire ku kitebe kya police ekikulu e Naggulu agambye nti emisango egibadde gyekuusa kubwa kirereesi gibaddemu obusosoze obusukkiridde, ate nga gikaddiye, naasaba abasirikale essira baliteeke ku misango emirala.

Yadde nga emisango gino gigiddwawo kooti etaputa ssemateeka, police egambye tegenda kusonyiwa abo bonna abanakatibwa nga bambadde obukookolo, abatambula n’ebissi omuli obwambe n’amajambiya, wamu naabo bonna abakola ebintu ebirumya abalala mu bugenderevu.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top