Poliisi e Masaka ekutte abantu bana ku by’okutta omusajja ategerekese nga John Galiwango ow’emyaka 4o.
Omugenzi abadde musuubuzi wa mmotoka mu kibuga Masaka.
Poliisi erumiriza nti omugenzi yattiddwa okumpi n’ebbaala esangibwa e Kitovu-Nnume mu Nyendo-Mukungwe mu kibuga Masaka nga busasaana mu kiro ekikeseza olwaleero.
Omugenzi yakubiddwa bbulooka ku mutwe ekyaviiriddeko okuvaamu omusaayi omungi naafa.
Omulambo gwa Galiwango gwasangiddwa nga gugalamidde okumpi n’emmotoka ye nnamba UAG 429H era okusinziira ku poliisi, mmotoka eno tewali kyabbiddwamu.
Okusinziira ku batuuze, batebereeza nti omugenzi yattiddwa oluvannyuma lw’okuyomba n’abantu abaabadde mu bbaala.
Wabula okusinziira ku John Kateregga ssentebe wa LCI mu Kitovu-Nnume, omugenzi abadde muntu mwetoowaze nga tasobola kwenyigira mu kulwana.
Abatuuze basabye abakulembeze okubayambako okussa amataala kunguudo okukendeeza ku bumenyi bw’amateeka mu kitundu kino.
Omumyuka w’omuduumizi wa Poliisi mu kitundu kino Jamada Wandera, akakasizza bino n’ategeeza nti embwa ya poliisi ewunyiriza ye yabatuusiza ku nnannyini kisenge ky’ebbaala eno.
Omulambo gwa Galiwango gwatwaliddwa mu ddwaliro lya Masaka regional referral hospital okwekebejjebwa.