Amawulire

POLIISI EGUDDE KU MULAMBO GWO MUWALA EYATTIDDWA NASUULIBWA MU KIBIRA

Poliisi e Mbale ezudde omulambo gw`omuwala agambibwa okuba nga yattiddwa nasuulibwa mu kibira e Busamaga mu Northern Division, abatuuze okuli Wonyaka Patrick ne Gudoi Zainabu bagamba nti mu kibira kino battirawo nnyo abantu, era oluusi bateegerawo aba bodaboda nebabajjako pikipiki, ekizibu kino bakitadde ku bavubuka abayitiridde okunywa ebilagalalagala ensangi zino. Omwogezi  wa poliisi mu bitundu bya Elgon Rogers Tayitika yagambye nti omulambo gwazuuliddwa mu kibira kino naye nga kiraga nti baasuddewo musuule nga balina gye basookedde okumuttira kubanga omulambo wegusangiddwa tewabadde wadde ensitaano. Tayitika yagambye nti omuwala eyattiddwa ateberezebwa okuba wakakti we myaaka 20-25, naye mu kiseera kino poliisi bakyanonyereza okulaba nga bazuula bannannyini, naye agamba nti kirabika yasoose kusobezebwaako oluvannyuma nattibwa, wabula yalabudde abantu okwewala ettamiiro n`okutambula amatumbi budde.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top