Abadde atigomya ab’oku Kaleerwe bamukukunudde mu siringi y’ennyumba gy’abadde yeekukumye ku misango gy’omumenya amayumba mu Kawempe abatuuze, abantu bamuwaddeko obujulizi nti y’omu ku bakulira ekibinja ky’eggaali ekitambula kibba abantu .
Wabula baganda be baakoze effujjo ku basirikale ne batuuka n’okwagala okubayiira amazzi nga bagamba nti muganda waabwe embeera eri mu ggwanga ye yamuviirako okubba.
Muhamad Kato amanyikiddwa nga Kapo abatuuze b’omu Ssebina zooni gwe baagambye nti bamukooye olw’obubbi ng’amenya amayumba n’okuteega abantu n’abakuba n’amala n’akuulita n’omunyago ye yakwatiddwa Poliisi .
Gye buvuddeko Kato alina enju y’omutuuze Faith Ainebyona (23) gye yamenya n’abbamu ssente 450,000/ essimu bbiri , ensawo omwali ebintu ng’okumuzuula emu ku ssimu gye yabba balina gwe baagisanze nayo naye eyamulonkomye n’akwatibwa. Faith abadde yaggulawo omusango ku fayiro nnamba SD REF:18/31/05/2022.
Ku luno abatuuze olwamulaabye ng’ayingidde mu nju ya nnyina ne bamusibiramu ne bayita poliisi eyamukukunudde waggulu mu siringi.
Kato ku Idi ng’ali n’ekibinja kye baateeka emisanvu okumpi n’ekizimbe kya Zakaliya ne banyagulula abantu abasirikale baagenda okutuukawo ne badduka.
Musa Ssemwanga yagambye nti Kato alina ekibinja kinene ky’akola nakyo nga bateega abantu ku luguudo lwa Mawanda , Binaisa n’endala era batambula n’ebissi bye beeyambisa okumenya amayumba nga tebaliko budde n’emisana bakikola.