Amawulire

Poliisi ekutte 6 ku by’okumenya amateeka.

 

Poliisi y’e Busoga North ne Buyende bakutte abantu 6 ku misango gy’okwenyigira mu kukusa abantu nga basuubiziddwa emirimu.

Abantu bagiddwa ku kyalo Nadiope mu muluka gwe Bukutula mu ggombolola y’e Irundu.

Abakwate kuliko Kafuuma Charles abadde akola nga manejja, Mubiru John, Segula Ron, Kimini Town (Dereeva), Balikoowa James ne Kabanda Nasif.

Abantu babadde bagibwako wakati wa ssente shs 50,000 – 150,000.

Baasangiddwa mu kosita namba UBF 222L ku Lwokusatu lwa wiiki ewedde nga 11, October, 2023 ku kyalo Nadiope ku ssaawa 1 ey’akawungeezi.

Ate ku Lwokutaano nga 13, October, 2023, Poliisi yakutte bannansi ba Eritrea 6.

Bonna 6 baasangiddwa mu mmotoka ekika kya Toyota wish namba UMK 918Y nga bava e Busia okudda mu Kampala.

Okusinzira ku Fred Enanga, ddereeva yakwatiddwa, emmotoka eri ku Poliisi ate bannansi ba Eritrea 6 nga bali ku misango gy’okuyingira mu Uganda mu ngeri emenya amateeka, baasindikiddwa mu Minisitule y’ensonga z’omunda mu ggwanga ekola ku nsonga z’abantu abayingira n’okufuluma eggwanga.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top