Amawulire

Poliisi ekutte abasomesa ababadde bayambako abayizi okukopa.

Poliisi ekutte akulira essomero lya Cardinal Nsubuga Memorial P/S mu Ndeeba Deogratious Yiga n’abakulu b’amasomero abalala basatu abatuuliza abayizi ku ssomero lino, wamu nabasikawutu ba UNEB, nga kigambibwa baakwatiddwa nga bayambako abayizi okukoppa ekigezo kya Ssaayansi.

Poliisi ya Ndeeba ye yasoose okuyitibwa n’etuuka ku ssomero lino ate oluvannyuma n’ey’e Katwe n’etuuka abasomesa bonna n’abamu ku bakozi ba UNEB ne bakwatibwa ne batwalibwa ku poliisi e Katwe gye bakuumirwa kati.

Omu ku baserikale ba poliisi ya Ndeeba ataayagadde kkwatuukiriza mannya agambye nti, waaliwo Supervisor wa UNEB eyazze n’asanga obupapula obuwandiikiddwa ansa z’ebibuuzo ebiri mu kukolebwa nga busuuliddwa okuliraana ebibiina mwebakolera ebibuuzo, bwe yayingidde munda nga namwo mwe buli, nga kitegeeza abasomesa baabadde babuwandiika nga bwebatwalira abayizi.

Ate ekyasinz eokwewuunyisa ng’abakuumi ba UNEB nga beesudde okuva ku bibiina awakolerwa ebibuuzo bali eri mu byabwe ekyabadde kiraga nti waabaddewo omupango baveewo bano bayambeko abayizi baabwe era mu kiraasi emu mwabaddemu omusomesa ayambako abayizi.

Abasomesa b’amasomero gonna agatuulizza bayizi ku ssomero lino baakwatiddwa bakuumirwa ku poliisi e Katwe.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top