Amawulire

Poliisi ekutte Pasita ateberezebwa okukukusa abaana.

Poliisi y’e Wakiso ekutte pasita n’abantu abalala 3 bagiyambeko mu kunoonyereza ku baana 20 abaasangiddwa e Nkoowe ku luguudo lw’e Hoima nga kiteeberezebwa okuba nga bakukusibwa. Kati abantu 6 be baakakwatibwa.
Pasita Amos Betungura yakwatiddwa poliisi n’abakozi abalala 3 ababadde bakuumira abaana mu kiyumba nga bwe baluka omupango ogw’okubakukusa.


Bano baasangiddwa ku nnyumba epangisibwa e Mende mu disitulikiti y’e Wakiso ng’eno poliisi yasanzeeyo n’ekinnya ky’amazzi munda mu nnyumba okumpi n’abaana gye babadde basula. Abaakwatiddwa ne Betungura kuliko; Maureen Olishaba Janet Komuhangi ne Betty Tusasire. Bano baabagasse ku Dinah Ashaba ne Caroline Nayebare abaasooka okukwatibwa ku Lwomukaaga. Mu kiseera kino bakuumirwa ku poliisi ssatu okuli ey’e Wakiso, Nansana ne Kawempe era ensonda ku poliisi e Wakiso zaategeezezza nti okubaawulamu kyagendereddwaamu kufuna bujulizi obutajunguluddwa.
Poliisi abaana 20 yabanunudde ku kkubo e Nkoowe ku Lwomukaaga nga bali n’engugu zaabwe era abaasangiddwa n’abaana ne baggulwako omusango oguli ku fayiro nnamba CRB 338/2023

Poliisi eyogezza Pasita

Betungura bwe yakwatiddwa yategeezezza nti abaana bano mulimu ababe mukaaga be yazaala mu bakyala babiri wabula n’ayawukana nabo kwe kubateeka mu nnyumba e Mende n’abassaako n’abakozi ababalabirira. Yagambye nti abalala tabamanyi kirabika ba bakozi bano.
Yagambye nti abaana we baabasangidde baabadde babatwala kulinnya bbaasi ebatwale mu ddwaaliro e Mbarara bafune obujjanjabi.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga bwe yabadde mu lukung’aana lw’abaamawulire ku Mmande e Naggulu yategeezezza nti, Betungura yeetutte ku poliisi n’ategeeza nti abaana bano babe. Ono yaggyiddwaako omusaayi bakebere endagabutonde okukakasa oba nga by’ayogera bituufu.
Yagambye nti ebinaavaamu bwe binaalaga nga ye taata waabwe, waakuvunaanibwa omusango gw’okulemererwa okulabirira abaana, ate bwe bataabe babe waakuvunaanibwa okuwa poliisi amawulire ag’obulimba.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top