Amawulire

Poliisi enunudde abavubuka 200 abali bakukusibwa.

 

Abavubuka abakunukkiriza mu 200 banunuddwa amagye ne police mu kikwekweto ekikoleddwa ku kyalo Nampunge mu gombolola ye Kakiri mu District ye Wakiso.

Kigambibwa  nti babadde bagibwako ensimbi eziri wakati wa shilling omutwalo gumu n’akakadde, nga babadde basuubizibwa okubatwala okukolera mu Kenya mu woteeri emanyiddwa nga St Mary Hotel.

Maj. Charles Kabona omwogezi wekibinja ky’amagye ekisooka e Kakiri agambye baliko omukyala gwebakutte Harriet Nassuuna abayambeko okuzuula ababadde bakukusa abavubuka banno.

Kabona era alabudde abakulembeze ku mitendera egyenjawulo  okubeera obulindaala ku bantu bwebatyo abasobola okukusibwa nebatwalibwa mu butujju.

Aldon Walukamba okuva mu kampuni ya Kinyara agambye nti kampuni ennene zikoseddwa nnyo mu nkola ya government eno ey’okuwa liyisinsi eri kampuni empya mu bifo ebirimu amakolero amalala agakola sukaali.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top