Amawulire

Poliisi eriko b’ekute ne bavunaanibwa.

Poliisi e Wandegeya, eduumirwa DPC Hassan Hiwumbire eriko abakyamu abazze balabikira mu butambi bwa kkamera z’oku nguudo nga banyaga abantu b’ekutte oluvannyuma lw’okukola ebikwekweto mu bitundu okuli Kyebando , Mulango, Nakulabye, Kagugube n’ebirala n’ebaggalira ng’abamu basimbiddwa mu kkoti ya LDC ne Baganda Road ne basindikibwa mu kkomera ku misango gy’okubbisa erynyi. Okusinziira ku poliisi, abakwate kuliko Rickson Ogema nga ono yeeyita Ricky abadde akulira akabinja akatigomya ku Mawanda Road, Shell Mulago Mike Kakooza nga yeeyita Aidari 16, Marvin Kigozi 22, Mark Ssekyanzi 19, Bruce Amanya 22, ng’ono yalabikira mu katambi ng’asika essimu mu mmotoka e Kagugube okuliraana enkambi ya poliisi y’amagye ne A bdul Lukwago 22,eyeeyita Patrol. DPC Hiwumbire yalabudde bannakampala okunyweza enzigi n’okwambusa endabirwamu z’emmotoka zaabwe obutabibwako bintu byabwe. Hiwumbire yasabye abantu okwongera okukwatagana ne polisi nga bagiwa amawulire agakwata ku bumenyi bw’amateeka mu bitundu byabwe. Amyuka omwogezi wa poliisi nga bagiwa amawulire agakwata ku bumenyi bw’amateeka mu bitundu byabwe. Amyuka omwogezi wa poliisi mu kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigyire yategeezezza nti poliisi yaakwongera okunyweza ebyokwerinda naddala mu bitundu ebikoseddwa ennyo ebibinja by’abavubuka bano.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top