Amawulire

Poliisi eteguludde bbomu ebadde egenda okukubwa ku kanisa ya Musumba  Kayanja.

Wabaddewo obunkenke n’akasattiro ku kanisa y’omusumba Robert Kayanja eya Lubaga Miracle center mu Lubaga, wakati ng’abakkiriza bali mu kusaba, ab’eby’okwerinda bwebazinzeeko ekifo kino, okukwata agambibwa okuba omutujju abadde ateekateeka okukuba bbomu mu kifo kino.

Kigambibwa nti omutujju azze n’ekintu ekyefananyiriza fulasika etereka emmere, wabula nga watuukidde ku kanisa eno ebitongole ebikesi bibadde bimulondoola.

Okusinziira ku beebyokwerinda bbomu eno ebadde nkolerere nga bajijingiridde mu misumaali, bbaatule za pikipiki, charger n’essimu.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala neemiriraano, Patrick Onyango, akakasizza nti omutujju ono, akwatidwa era ne bbomu ab’ebyolwerinda bajitulisizza nebajisanyaawo.

Onyango agambye nti omutujju ategerekese nti ye, Kintu Ibrahim ow’emyaka 28, kyokka nti abategeezezza nti wakyaliyo banne abalala 3, abateeberezebwa okuba mu mupango guno gwegumu, era nti nabo balagiddwa okubaako bbomu endala zebatega.

Onyango agamba nti wakyaliwo ne bbomu endala 3 ezikyayiggibwa nga ziri mu bitundu ebyenjawulo, n’alabula abantu abakungaanira mu bifo by’olukale ebirimu abantu abangi okubeera abegendereza.

Omusumba Kayanja, ategezezza endiga ezibadde mu kkanisa nti basanidde okwebaza ennyo Katonda abakuumye obutattibwa bbomu nti kuba ye ajrabyeko n’amaaso ge.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top