Poliisi eyimirizza ekibiina kya NUP okutalaaga ebitundu eby’enjawulo nga baggulawo ofiisi zaabwe mu ggwanga.
Mu kiwandiiko ekissiddwako omukono amyuka omuduumizi wa poliisi mu ggwanga, Maj. Gen. Tumusiime Kasigazi , ategeezezza nga Bannakibiina kino bwe baava ku mulamwa ku ebyo bye bakkaanyaako nga tebannatandika kutalaaga.
Ekiwandiiko kino ekisomeddwa omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga leero ku kitebe Kya poliisi e Naguru , Kasigazi ategeezezza nti bannakibiina kino babadde bataataganya abantu, okwonoona ebintu byabwe, okutaataaganya ebidduka n’okwenyigira mu kukola efujjo .
Ayongeddeko nti e Hoima ,waliwo eyafiiridde mu kabenje n’abalala ne bafuna obisago ebyamaanyi ,nga kino bbo nga poliisi tebasobola kukigumiikiriza.
Enanga era ategeezezza nti bwe baabadde e Luweero, omukulu w’ekibiina kino, yakozesezza ebigambo ebikuma mu bantu omuliro, okuvvoola n’okulengezza omukulembeze w’eggwanga , kwe kusalawo bayimirize okutalaaga kwabwe okutuusa nga bagondedde amateeka.
