Amawulire

Poliisi ezudde emmotoka eyabbiddwa.

Poliisi ya Uganda ezudde  emmotoka esaabaza amafuta ekika kya Kerosene tonne 34, eyabadde enyagiddwa ku mudumu gw’emmundu.

Alipoota ya poliisi eraze nti emmotoka eno No. UAU 402E baagibbira ku kyalo Bukoyo ku luguudo oluva e Iganga okudda e Jinja, ku Saturday ng’ennaku z’omwezi 21 October,2023

Emmotoka eno eyali etisse amafuta yali evugibwa munnansi wa Somalia Abdul Nuru, ng’amafuta yali agajja Kenya ng’agatwala Kampala , kwekugwa mu bazigu b’emmundu 5 ku ssaawa nga 3 ez’ekiro, nebamuggya mu mmotoka ye nebamusiba emikono n’amagulu nebamusuula mu mmotoka endala kika kya Wish nebamuvuga okutuuka mu bikajjo bye Kakira mwebaamusuula.

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategezezza nti emmotoka y’amafuta esangiddwa ng’ekukuliddwa mu kibuga Jinja era nga n’amafuta gaayo gonna gakyajudde.

Bagikwasizza bannyini mafuta aba Prompet Energies Ltd, ng’okunoonyereza ku bunyazi buno bwekukyagenda maaso.

Enanga asabye abantu naddala badereva abavuga ebimotoka ebitambuza eby’amaguzi okubeera abegendereza, ate era bakolagane n’abakuuma ddembe okusobola okutuusa emmaali yabwe ku katale obulungi.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top