Poliisi e Kabale ekutte abantu 48 abagambibwa nti baludde nga batigomya abatuuze.
Mu kikwekweeto ekikoleddwa Poliisi n’amaggye, abakwate basangiddwa mu bifo eby’enjawulo.
Mu bakwate okuli abakyala 3 basangiddwa n’ebintu omuli enjaga, ebikozesebwa okumenya amayumba, ebintu ebiteeberezebwa okuba ebibbe omuli Pikipiki n’ebintu ebirala.
