Amawulire

Poliisi ekutte abadde agezaako okutemula abatuulafiki.

Poliisi yakutte omusajja agambibwa nti yabadde agezaako okutema omupoliisi wa poliisi y’ebidduka ku kiggwa kye Doka mu disitulikiti ye Mbale.

Okusinziira ku poliisi obulumbaganyi buno bwakoleddwa omusajja Simon Muhama eyabadde akutte ejjambiya mu ttuntu ly’Olwokubiri.

Kigambibwa nti Muhama ow’emyaka 45 yalumbye abapoliisi ababadde mu kibangirizi kya bannamakolero ku Sino Uganda Mbale Industrial Park nayagala okutema abapoliisi bano.

Oluvannyuma bamwanguyidde nebamusinza amaanyi ejjambiya nemuggyibwako wabula ensonga eyamuleetedde okwekyawa temanyise.

Kati Muhama akuumirwa ku poliisi ye Mbale nga okunoonyereza bwekugenda mu maaso.

Omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Elgon, Rogers Taitika yeebazizza abatuuze olw’okubalabula ku Muhama  era nasaba bulijjo okukolanga batyo.

Ku Mmande, waliwo ekibinja ky’abantu ababadde bakutte ejjambiya abalumbye abapoliisi y’ebidduka e Luweero nebatandika okubatematema okukakkana nga omu bamusse ate omulala nagendera ku bisago ebyamanyi.

 

 

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top