Pulofeesa wa yunivasite e South Africa asimbiddwa mu kkooti y’amagye e Makindye n’avunaanibwa okubeera ne yunifoomu y’amagye, abenganda bagamba amaze omwaka Mulamba nga bamunoonya.
Brightish Daniels Mazinga Jjuuko 51, nga musomesa era munnabyangiriza omutuuze w’e Seeta Mukono avunaaniddwa okubeera ne yunifoomu mu bukyamu ,asindikiddwa mu kkomera.
Ab’enganda za Mazinga ababadde ku kkooti bategezezza nti bamaze omwaka Mulamba nga bamunonya era beekanze okufuna ssimu nti atwalibwa mu kkooti y’amagye.
Ronald Lumu ne Alex Muwaya ab’enganda za Mazinga babadde mu kkooti ng’omusango gwongezebwayo bagambye nti muganda waabwe yakwatibwa mu 2022 e Kenya kyokka n’okutuusa kati oludda oluwaabi teruleeta bajulizi ku muntu waabwe.
Bano baayongeddeko nti Mazinga yali alina abaana be yatwala mu ssomero lye e South Africa ng’okukwatibwa kwe tebamanyi kati mbeera gye balimu, ng’ate yalina famire n’abaana abamwetaaga ennyo.
Baasabye kkooti omuntu waabwe awozesebwa bwe waba tewali bujulizi ayimbulwe.
Oludda oluwaabi lugamba nti nga August 2, 2023 ku nsalo e Kwakhakha mu distukiti y’e Manafwa yasangibwa ne ppeya emu eya yunifoomu eya madowadowa emanyiddwa nti ya UPDF.
Eno teyalina lukusa kubeera nayo.
Omusango gwamusomeddwa ssentebe wa kkooti Brig Gen Freeman Robert Mugabe era n’agwegaana.
Omuwaabi wa gavumenti Lt Alex Mukwana yategeezezza nti okunoonyereza kukyagenda mu maaso. Yamusindise mu kkomera okutuusa nga October 30,2023.