Mu mwaka oguwedde, amawanga amalala gaali gaali gagoyebwa ekirwadde kya covid 19, Uganda lwe yafuna omusuubuzi eyali ava e Dubai eyazuulibwamu akawuka ka corona. Wadde nga yekebejjebwa bulungi n’azuulibwamu ekirwadde kino tewali yali asuubira nti eby’enfuna bya Uganda binaagootaana okujjako okutya kwokka.
Mu kiseera ekyo, ab’obukolero ne bubizinensi baatandikirawo okwetegeereza embeera era abasinga baakendeeza ensaasaanya, nebakendeeza okuteekamu ensimbi nga beeraaliikiria okifiirwa ensimbi. Kino kyali kituufu era zakirozaako Gavumenti bwe yateekawo ebiragiro by’okugoberera okusobola okukeendeeza ensaasaanya y’akawuka, naye nga ekyasinga okubakosa ennyo gwe muggalo.
Mu kunoonyereza okwakolebwa aba UNCDF (United Nations Capital Development Fund) kwalaga nti eby’enfuna byadobonkana mu buzinensi zonna newabeerawo okufiirizibwa kwa bitundu 37 ku kikumi. Kwalaga nga ennyingiza yakeendeera nga kyava ku mateeka agateekebwawo gavumenti ne minisitule y’ebyobulamu. Ebitundu 46 ku kikumi ebyamakolero byasuubirwa okwavuwala ne kuddako n’abasuubuzi ebitundu 41 ku kikumi n’ebyobulimi ebitundu 15 ku kikumi. Kyateeberezebwa nti abakozi abasoba mu bukadde obuna n’emitwalo ana (4.4 millions) ennyingiza yagootaana wamu n’okufiirwa emirimu gyabwe olwa amakolero okugwa naddala ago agaddukanyizibwa abakyala .
Oluvannyuma lw’ebyo bonna okubaawo, Post bank nga bali wamu ne Uganda Development Bank (UDB) basazeewo okudduukirira enteekateeka ya Gavumenti ey’okunnyulula bizinensi ezakosebwa embeera eno nga ebawola ssente eziriko amagoba ga bitundu 13 ku kikumi nga eruubirira bizinensi naddala ezo ezikola ebintu ebikozesebwa buliggyo, ebyobulimi n’obulunzi n’ebirala.
Julius Kakeeto nga ono Mukungu mu Post bank Uganda yagambye “Mu Post bank nga bali wamu ne Uganda Development Bank baluubirira okukola ku buli mbeera yonna ey’ensimbi esoomooza buli bizinensi oba amakolero”. Post bank egenderedde kusitula amakolero agebika byonna omuli n’obulimi oba bizinensi ez’enjawulo ezakosebwa omuggalo. Bateeseteese ensimbi obuwumbi bubiri za bya bulimi, emaze efulumya obuwumbi 12 eri bakkasitoma ataano abeesobola, obuwumbi 10 obulala bukyateekebwateekebwa kyokka nga waliwo obuwumbi obusoba mu 20 bwa kwewola.
Julius agamba nti bizinensi ezisuubirwa okuganyurwa mu nteekateeka eno zirina okuba n’ebimu ku bisaanyizo bino;
Kikwetaagisa okuba oba okuggulawo akawunta mu banka ya Post bank era ne siteetimenti ey’emyezi 12 egyasemba mu banka gyolimu kati, wamu n’omusingo mu kwewola ensimbi.
Mu byetaago ebirala mulimu okuba n’ebiwandiiko ebikozesebwa mu kwewandiisa, fayinanso kaadi n’ebitabo bya bizinensi eby’emyaka esatu emabega eri abo abaneewola ensimbi eziwera obukadde kikumi n’okusoba.
Esimbi zino osobola okuzeewola nga osinziira ku matabi gonna okwetooloola Uganda yonna oba okusaba nga oyita ku mutimbagano osobole okuzikozesa okutuuka ne ku myaka ekkumi n’etaano ku magoba amatono ddala ebitundu 13% omwaka.