Amawulire

President M7 yekokkodde eggye ly’amawanga amagatte.

President Yoweri Kaguta Museveni agambye nti tasobola kukkirizza ggye ly’amawanga magatte UN okujja okuwa obukuumi mu Uganda, nga bwekiri mu mawanga amalala mu Afrika.

President Museveni anyonyodde nti Uganda esobolera ddala okwekuuma bweba erina sente oba terina, nagattako nti okukumibwa eggye lya kibiina kyamawanga amagatte  ki UN kivumo kyenyini.

Bino Museveni abyogedde aggulawo okulungaana lw’abalamuzi  olubeerawo  buli mwaka.

Olw’omwaka guno lwa mulundi gwa 24 lubumbujjira ku Mystil hotel  mu Kampala.

Olukungaana luno lwakumala ennaku 4 nga lutambulira ku mulamwa ogugamba nti enkyukakyuka mu ssiga eddamuzi nekigendererwa ekyokutumbula obwenkanya.

Museveni asinzidde mu lukungaana luno nasaba abalamuzi okukozesa ensimbi entono zeyabawa okutuusa obwenkanya ku banna Uganda, nti kubanga ssente sizezigaba obwenkanya. .

Agambye nti naawatali nsimbi omuntu asobolera ddala okufuna obwenkanya.

Ssabalamuzi Owinyi Dollo asabye Museveni okwongezza ku nsimbi eziwebwa essiga eddamuzi, okulonda abalamuzi abalala, nti kubanga abaliwo mu kiseera kino batononnyo okusinzira ku muwendo gwa bannansi ogweyongera buli lunaku.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top