Amawulire

President Museveni mwenyamivu olwa banna Uganda.

President Yoweri Kaguta Museveni Tibuhaburwa, mwenyamivu olwa banna Uganda abakyaganye okwegemesa ekirwadde kya Covid 19, wadde nti government efubye okubanonyeza eddagala okwegemesa.

President Mukwogerakwe eri eggwanga ng’asinziira mu maka ge e Nakasero, agambye nti kimwenyamiza okulaba nti atalaaga amawanga agenjawulo okufuna obuyambi obutaasa banna Uganda omuli n’okubasakira eddagala ngerya Covid 19, kyokka bweryatuusibwa kuno abantu tebeefiirayo kujumbira kwegemesa.

President agambye nti kyenyamiza nti mu mawanga okuli Brazil, South Korea, China ne France namawanga amalala obulwadde buzeemu okwejiriisa.

Agambye nti wano mu Uganda abantu obukadde 19 n’emitwalo 2 bokka bebakagemebwa doozi esooka, obukadde 6 nemitwalo 60 bebakagemebwa doozi ebbiri okuzimalayo, nga abakafuna booster doozi bali emitwalo 453, 000 bokka.

Presidnet Museveni mukwogerako eri eggwanga agambye nti ssinga banna Uganda basigala nga balemye okwegemesa wakubasalirawo ekinaddako nagamba nti eddagala government erina eriwera okugemesa abantu.

Era mwenyamivu olw’omusujja gw’ensiri ogweyongedde mu ggwanga, ng’omwaka guno okutuusa mu mwezi ogwe 10, abantu 2,489 bebakakasibwa okufa omusujja gwensiri, so nga omwaka ogwayita 2021 abantu abasoba mu 2,770 bebaafa.

Museveni agambye nti obuzibu ku nsonga eno, ate businze kuva ku banna Uganda okwegayaalirira okusula mu butimba, nga noobwabaweebwa baabukozesa birala.

Museveni era ayogedde ne ku kirwadde kya mukenenya ekizeemu okwejiriisiza mu ggwanga nga buli mwaka abalwadde emitwalo 54,000 abapya bebazuulibwa, kyagambye nti kyabulabe ddala eri enteekateeka za Uganda okukirwanyisa.

Agambye nti n’obulwadde okweyongera mu bavubuka kyeraliikiriza nga kisaanidde okunogerwa eddagala bunnambiro.

Mu ngeri yeemu president Museveni alabudde abaseddekezi abazze balumbagana abasirikale nebakuba amasasi ate nokubabako emundu nti eyabaalula esiridde, agenda kubayiga yonna gyebekukumye abakwate.

Anokoddeyo obulumbaganyi obwenjawulo obukoleddwa mu mwaka guno kubantu babulijjo, abakuuma ddembe ate n’abakungu ba government kyokka nagamba nti bano ajja kubamala amaanyi.

President Museveni ategezezezza nti eggye lya UPDF ly’aduumira ly’amaanyi nnyo okukira abantu abamu bwebalowooza, era bwatyo n’asaba banna Uganda obutaba n’akutya kwonna.

Okwogera kwa president Yoweri Kaguta Museveni nga kugenda mu maaso, yayimirizaamu mukwogerakwe n’aleeta obutambi bw’abaana abato (amannya agasirikiddwa) abalowozebwa okuba abayeekera ba ADF obwakwatibwa ng’abasoyezebwa kajojijoji w’ebibuuzo okumaya engeri gyebayingizibwamu mubuyekera.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top