Ssenkaggale w’ekibiina ki Democratic Party, Nobert Mao aliko ddiiru gyeyakutudde ne ssentebe w’ekibiina ki National Resistance Movementi (NRM) era Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni okukolera awamu basobole okutambuza eggwanga.
Bano enzikiriziganya bagituuseeko mu nsisinkano gyebabaddemu oluvannyuma lw’okuteeka omukono ku ndagaano egenda okulung’amya omukago gwabwe mu maka g’Obwapulezidenti Entebbe.
“Wadde DP eri ku ludda oluvuganya naye si babi nnyo, tebakolokota nakuwakanya mu ngeri etazimba naye bakulaga ekirina okukolebwa,” Pulezidenti Yoweri Museveni bweyagambye nakakasa nti omukago guno gubadde gwalwawo..
Pulezidenti Museveni yataddeko omukono kulwa NRM ate Mao nateekako kulwa DP ate Ssaabawandiisi wa NRM, Richard Todwong ne Ssaabawandiisi wa DP, Gerald Siranda nebajulira endagaano eno.
Okusinziira ku Pulezidenti Museveni DP erina obukulembeze obulungi era abeesimbu nga bakolaganika nabo.
Bweyabadde ayogerako eri bannamawulire ku mukago guno, Mao yeebazizza olw’okukaanya kuno era nategeeza nti olugendo luno lwatandika dda nga n’abamu ku bannakibiina tebanazaalibwa.
Mao yasabye Pulezidenti Museveni okukozesa omukisa guno okukung’aanya bannakibiina abeesudde mu bitundu by’ eggwanga eby’enjawulo n’ebibiina gyebaddukira.
Ssenkaggale Mao yategeezezza nti bakussa ekitiibwa mwebyo ebikkiriziganyiziddwako kuba bikoleddwa mu bwerufu era endagaano eno eraga nti obutakkanya obubaddewo bukoleddwako.
Ono yeebazizza Pulezidenti Museveni olw’obukugu bw’alaze nga akulembera eggwanga nasaba bannayuganda okwongera okumusabira.