Amawulire

Prof. Obua alondeddwa nga ssentebe owa UNEB omuggya.

 

Ministry y’ebyenjigiriza eronze Prof. Celestino Obua nga ssentebe w’olukiiko olukulembera ekitongole ky’ebigezo mu ggwanga ekya UNEB.

Prof.Obua azze mu bigere bya Prof.Mary Okwakol eyasiibuddwa wiiki ewedde, oluvannnyuma lw’ekisanja kye eky’emyaka 5 okugwaako mu October,2023.

Prof.Celestino Obua abadde member ku board ya UNEB eyo 9 neye 10.

Obua ye Vice Chancellor wa Mbarara University of Science and Technology.

Minister w’ebyenjigiriza ebyawaggulu Owek. J.C Muyingo agambye nti olukiiko lwa UNEB olw’omulundi ogwe 11, lwerugenda okuteekesa mu nkola entegeka y’ebibuuzo ebyesigamiziddwa ku curriculum empya, ebitandika omwaka ogujja 2024.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top