Ekibiina ekitaba abakulembeze ba gavumenti ez’ebitundu mu ggwanga ki Uganda Local Government Association (ULGA) batabukidde gavumenti ku musaala omutono gwebafuna nebategeeza nti singa tebongezebwa musaala bakuteeka wansi ebikola.
Okulabula kuno bakukoledde mu bbaluwa gyebawandiikidde Pulezidenti Museveni nebamusaba okumusisinkana bongere ku nsonga eno mu bwangu ddala oba sikyo beediime ng’eno yateereddwako omukono gwa ssentebe w’ekibiina Richard Rwabuhinga.
Bagamba nti ng’abakulembeze abaalondebwa abantu bakola emirimu mingi,n’obuvunaanyizibwa bwebatuusa ku bantu bungi wabula basasulwa akasente katono nga mu mbeera eriwo mu ggwanga baba tebakyasobola kumalako.
Abamu ku bassentebe badisitulikiti bagamba nti ebitundu byabwe binene kyokka nga beetaaga okutuukira ddala ku muntu asembayo wansi kyokka baweebwa omusaala gwa bukadde 2 bwokka nga tezisobola kubamala.
Kati bano baagala omusaala gwabwe gukubisibwemu emirundi 4 batuuke ku bukadde 8 n’abakulembeze abalala bwebatyo.
Bano okusaba okusisinkana Pulezidenti Museveni kizze yakamala okusisinkana abasomesa b’embeera (Arts) ababadde mu kwediima nga bawakanya ekya gavumenti okusooka okwongeza abasomesa ba Saayansi omusaala kyebagamba nti kikolwa kya kusosola.
Wabula oluvannyuma lw’ensisinkano eno, Pulezidenti Museveni yabasabye abasomesa okudda mu bibiina byabwe basomese nga bwebateeseganya era nebakkiriza okusazaamu akeediimo akabadde kamaze wiiki ezisoba mu 3.