Amawulire

Pulezidenti Museveni akungubagidde minisita Engola.

 

Pulezidenti Yoweri Kaguta Tibuhaburwa Museveni, agambye nti ssimusanyufu n’engeri omusirikale gwebetendekedde mu magye ga UPDF, okwesulamu jjulume natta mukamaawe, gwebaamuwa okumukuuma obutatuusibwako bulabe.

Wilson Sabiiti wiiki ewedde yakuba mukamawe minister omubeezi avunanyizibwa ku bakozi, Rtd Col Charles Engola Okello Macondwogo, naamutta ate naye oluvanyuma neyekuba amasasi neyetta.

Pulezidenti Museveni abadde ku mukolo gw’okusabira omugenzi Engola ogubadde ku kisaawe e Kololo, n’okusiima ebirungi byakoledde eggwanga, n’agamba nti abasirikale kituufu tebafuna ssente nnyingi, naye enneeyisa yabwe erina kuba yanjawulo.

Annyonyodde nti abasirikale balina ebintu ebyenjawulo ebibaweebwa nga bayingidde obusirikale byebamanyi obulungi, era kyamwewunyisizza Ssabiiti okukuba mukamaawe nga yekwasa omusasulwa obubi.

Pulezidenti  Museveni era azeemu okwewera nti ssiwakukkiriza basirikale kuwudiisibwa bannabyabufuzi, era nti ebintu ebimu bikolebwa olwenguzi naawera nti ababikola bakukwatibwako n’omukono ogw’ekyuma.

Pulezidenti Mungeri yeemu akakasizza nti amagye ga UPDF gakuliyirira aboluganda lwa minister Rtd Col Charles Engola Okello Macondwogo, n’ente ezisoba mu 7, ngakabonero akokusasula obulamubwe ng”obuwangwa bw’Abalango bwebulagira.

Minisita w’ekikula ky’abantu abadde atwala Charles Engola, yegayiridde Abalango obutazimbulukusa nsonga, nga balowooza nti omwana wabwe yatiddwa n’ekigendererwa, wabula nti okunoonyereza kukyakolebwa.

Abaana b’omungezi ne Namwandu wa minister Engola nga ye Joyce Ayikoru, asinzidde Kololo, nebagamba nti Pte Wilson Sabiiti baamusonyiye olw’okubattira omwagalwa wabwe, kyokka nti bafiriddwa empagi ey’amaanyi mu maka.

Minisita Engola wakuziikibwa ku Lwomugaga  nga 13,2023 mu gombolola ye Oyam.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top