Pulezidenti Museveni alabudde abakulira n’okuteekerateekera ekibuga Kampala ku kugobaganya abanaku naddala mu butale okukikomya mu bwangu kuba Kampala siwa bagagga bokka.
Okulabula kuno, Museveni akukoze asisinkanye ab’ekitongole ki Kampala Capital City Authority, abakulembeze b’obutale mu Kampala n’emirilaano mu maka g’Obwapulezidenti e Nakasero ku Lwokubiri.
Pulezidenti Museveni yategeezezza nti abantu bamufuna mpola bebalina okubeera bannannyini butale buno awamu n’okubuddukanya kyokka kyewunyisa okulaba nga obumu butwaliddwa abagagga nebabuggya ku banaku.
“ Abagagga basobola bulungi okufuna amaduuka ku Kampala Road, Ntinda n’ebifo byonna ebirala. Nga abakulembeze abalumirwa ensi yammwe, mulina okulowooza ku baavu,” Pulezidenti Museveni bwe yannyonnyodde.
Ensisinkano eno eddiridde ekiragiro kya Pulezidenti ku kugonjoola ensonga eziruma abantu abaavu mu Kampala n’emirilaano.
Museveni era alagidde KCCA okulaba nti buli Divizoni ye Kibuga ebeeramu obutale bubiri obwa gavumenti awamu ne ppaaka 2 nga bino birina kubeeramu baavu era bebalina okubiddukanya.
“Abantu bemugoba ku nguudo babadde bagamba nti tebalina waakulaga, kati bwemubagoba nga temubategekedde banaalaga ludda wa?” Museveni bwe yabuuzizza.
Okusobola okusalira ebizibu bamufuna mpola byebayitamu, Pulezidenti Museveni yalagidde Ssaabaminisita okutuula nabakwatibwako ensonga basalire wamu amagezi ku kirina okukolebwa.
Ssaabaminisita, Robinah Nabbanja yeebazizza Pulezidenti Museveni olw’amaanyi gateekau okulwanirira omuntu wa bulijjo era neyeeyama okukolagana nabakwatibwako okuteereza embeera ya Mufunampola mu butale.
Ensisinkano eno yeetabiddwamu minisita omubeezi owa Kampala, Kabuye Kyofatogabye, Minisita wa gavumenti ez’ebitundu , Raphael Magezi, Akulira KCCA Dorothy Kisaka, Omubaka wa Pulezidenti mu Kampala, Amina Lukanga ne Mmeeya Salim Uhuru.