Amawulire

Pulezidenti Museveni ayambalidde abakuuma ddembe ku kuttibwa kw’abalambuzi.

Omukulembeze w’eggwanga Museveni ayambalidde ebitongole ebikuuma ddembe obutakola kimala ekyaviiriddeko abajambula abateberezebwa okubeera abayeekera ba ADF okutta abalambuzi 2 ne dereeva waabwe mu kuumiro ly’ebisolo elya Queen Elizabeth mu district eye Kasese.

Mu bubakabwe bwayisizza ku mitimbango, Museveni ategeezezza nga n’ekitongole ekivunanyizibwa ku bisolo eby’omuttale ki Uganda Wildlife Authority bwekyalagajadde nekituuka okuleka bano okugenda bokka bwe babadde basibuula ng’ate okuva emabega yonna baabadde babawa obukuumi.

Anennyeza neggye ly’eggwanga okukozesa obukodyo obw’omulundi ogumu nga balinnya akagere abajambula bano

Asuubizza ekitebe kya Uganda e Bungereza okukolaganira wamu n’abenganda z’abagenzi mu nsi eyo okulaba nga bayambibwa.

Kati awadde ebiragiro eri ebitongole ebikuuma ddembe wamu n’abakola ogw’obukessi okulaba embeera eno tedamu kulabwako.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top