Amawulire

Rev. Ivan Waako yasabye Bannayuganda okwebaza Katonda akyatubisseeko akasubi.

Bannayuganda  basabiddwa okwesiga Katonda mu kaseera kano nga eggwanga liri mu katyabaga k’ebyenfuna.

Bino byogeddwa Rev. Ivan Waako mu kusaba ku kkanisa ya St. Johns e Ivukula mu disitulikiti y’e Namutumba.

Okusaba kuno kwetabiddwaako Minisita omubeezi ow’amayumba, Persis Namuganza bannaddiini n’abantu baabulijjo era nga kubadde kutegekeddwa okwebaza Katonda okuyisa Uganda mu ndwadde ya Covid wadde nga yazzeemu buto.

Rev Ivan yategeezezza nti Bannayuganda mu kiseera kino balina okwebaza Katonda olw’ebyo by’abayisizzaamu n’agamba nti amawanga mangi gayise mu bizibu bingi okusinga ku Uganda era Covid yagayuzaayuza bulere .

Ye Minisita Namuganza yakubirizza Bannayuganda okusabira ensi yattu Uganda Katonda aleme okutwerabira ne yeebaza ne Pulezidenti Museveni olw’amaanyi gaataddemu mu kaseera kano ng’ensi eri mu kattu k’ebyenfuna okusobola okulaba nga tubivvuunuuka.

Namuganza yawaddeyo ssente obukadde butaano buyambeko mu kumaliriza ennyumba ya Ssaabadinkono w’omuluka guno oluvannyuma n’alambuzibwa omulimu ogukoleddwako mu kuzimba.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top