Amawulire

Rev. Mukuye asabye abakulembezze okutambula nga bali bumu.

Omusumba w’obusumba bw’e Ndejje Mayanja Mukuye asabye abakulembezze buli omu ku ddaala lye mu Makindye – Ssabagabo Munisipaali okutambula nga bali bumu, nga bwe bekwasa ne Mukama Katonda okubasobozesa okuddamu okuba abawanguzi, abaweereza abalungi nga tumalako omwaka guno ate nga tuyingira omupya 2023.

Bino Rev. Mukuye bino yabyogeredde ku kitebe kya Makindye Ssabagabo e Ndejje ku Zanta mu kusaba kw’okwebaza okumulako omwaka gwa 2022 nga mulungi ku Lwokusatu.

Yasabye Mukama okubanyweza nga bakulembezze abalina amazima, obumu bweyongere, ate batambule nga balina mwoyo mutukuvu n’amagezi awo Munisipaalite eryoke etinte budinda ng’etambulira okuva mu maanyi okudda mu maanyi.

Ye Mmeeya wa Makindye Ssabagabo, Ssaalongo Godfrey Ssemwanga asuubizza nga nti mu nteesa za Kanso ez’omwaka ogujja bagenda kugattamu ne bannadiini okuva mu ddiini ez’enjawulo kubanga abamu ku bakiise balemeddwa okukyusa mu mpisa ky’agamba nti bannadiini be balina okubalung’aamya.

Ssemwanga era agumizza abatuuze wamu n’abulembezze bonna mu Makindye – Ssabagabo nga bwe bagenda okuleeta enteekateeka nnyingi ezibayamba bonna okuviira ddala ku muto okutuuka ku mukadde omwaka ogujja 2023 nga bagenda kutandikira ku kuzimba kifo we basomeseza abakyala, n’abavubuka emirimo egyenjawulo gye bayise ‘Incubation Center’ ng’eriko n’ekisaawe ky’ebyemizannyo.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top