Sacco eziwerera ddala 6051 okwetoloola eggwanga lyonna zezaakawebwa ensimbi z’okwekulaakulanya, mu nteekateeka ya government eya parish Development Model, zaakawebwa obuwumbi bwa shs 151.
Enteeekateeka eno yatongozebwa mu december wa 2020, ng’egenderera okuwola abantu abali mu bibiina, nga bisinziira mu miruka gyabyewandiisibwa.
Sacco zino 6051, buli emu ebadde ewebwa obukadde 25.
Emiruka 10,594 gyegisuubirwa okuwebwa ensimbi, nga buli gumu gufuna obukadde bwa shs 100 buli mwaka.
2664 zezisuubirwa okuwebwa ensimbi ng’omwezi guno ogwa November 2022 tegunagwako.
Minister omubeezi owa Micro Finance Kyeyune Haruna Kasolo bwabadde ayogerako ne bannamawulire ku Media Center mu Kampala, agumizza banna Uganda abaawandiisa Sacco ezitanafuna ssente mu nkola eya parish Development Model, nti babeere bagumu obudde bwonna ssente zijja, wabula wakyaliwo emitendera egikyagobererwa