Amawulire

Sauna gy’oyingira okwota okimanyi nti eyinza okuba akattiro!

 

Bannayuganda bangi betanidde okugenda mu sauna okwota nga bagenderera  okwokya amasavu n’okugoba situlesi.

Abamu bagendayo kukola mikwano kyokka lipoota eyakafurumizibwa abakugu eraga nti sauna z’omu Uganda ebitundu 90 ku 100 ziringa bbomu erinze okwabika.

Okunoonyereza kuno kwakoleddwa ekitongole ekivunaanyizibwa okulondoola omutindi gw’ebizimbe ekya National Building Review Board (NBRB).

Lipoota y’abakungu egamba nti sauna ezisisinga teziri ku mutindo era osobola okufunirayo obuzibu ng’ate wagenderedde ssanyu .

Abantu batono abafaayo okwetegereza omutindo gw’ebifo bino.

Bangi bafuniray ebizibu wabula olw’okutya okuswala,basirika n’ebizibu byabwe.

Bannanyini sauna bafuna kiralu kuba basasuza ssente eziri wakati wa 5,000/- ne 10,000/- buli lw’ogendayo.

Waliwo ebifo ebyakwatayo ng’oyinza okubulwa w’oyisa ekigere naddala mu budde obw’akawungeezi.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top