Charles Olimu, amanyikiddwa nga Sipapa yegaanye emisango egimuguddwako mu kkooti enkulu mu Kampala, mu maaso g’omulamuzi Micheal Elubu.
Sipapa aguddwako emisango 13 egy’okubbisa eryanyi ne mukyala we Rukia Nakiyemba wabula emisango gyonna bagyegaanye, era bonna baziddwa ku limanda okutuusa nga 17, Janwali, 2024.
Mu kkooti, omulamuzi akkiriza abantu 2 okuli Juliet Kasandwa ne Joseph Waribi okuwabula kkooti ku misango egyo.
Wabula oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Edward Muhumuza, lusuubiza okuleeta obujjulizi bwonna obuyinza okulumika Sipapa okwenyigira mu kuzza emisango.
Ate Sipapa, asabye kkooti, oludda oluwaabi okuleeta obutambi obwagibwa makaage n’obutambi obwagibwa mu maka n’omusajja Jacob Arok gwe bagamba nti yabba ebintu bye okuva makaage e Bunga – Kawuku, Makindye nga 29, August, 2022 omuli ssente akawumbi akasukka akalamba, TV, amassimu, kompyuta ssaako n’ebintu ebirala.
Mbu nga bakozesa ebiragalalagala ebyebaasa bye baakuba mu nnyumba ne babba ebintu.
Emisango emirala oludda oluwaabi lugamba nti Sipapa nga 30, August, 2022 e Nateete ku T.I PRO Audio International Uganda n’ekigendererwa eky’okubuzaabuza ensibuko ya ssente za ddoola emitwalo (USD 200,000) yaziwa Zhen Hua Hong Jie International Trading Co mu Bbanka ya Citibank ng’ayagala bamugulire ebyuma ebikuba omuziki ng’ate akimanyi bulungi ssente zino za buzzi bwa misango.
Kigambibwa Sipapa ne mukazi we babuzaabuuza ensibuko ya ssente obukadde 110 mu August, 2022 ne mmotoka ekika kya Jeep Wrangler ng’akimanyi era ng’alina okukimanya nti za buzzi bwa misango.
Mu kkooti, balina bannamateeka okuli Henry Kunya ne Suzan Wakabawa.