Amawulire

Sipiika ayanukudde abeebuzza lwaki gy’akomyewo ng’abalongo tebannaweza mwezi.

 

Sipiika wa Palamenti ya Uganda, Anita Annet Among ayanukudde abeewuunya engeri gy’akomyewo amangu ku mulimu ng’abalongo be yazaala jjuuzi tebannaweza
mwezi.

Among bwe yabadde akubiriza Palamenti eggulo, yagambye nti si tteeka, bannabyabufuzi okuweebwa olukusa okuwummulamu ku mirimu okugenda okuzaala n’oluvannyuma nga bamaze okusumulukuka nti era ye ky’avudde akomawo amangu.

Yakkaatirizza nti byonna by’abadde ayaayaanira mu bulamu abifunye kuba yali abuzaayo balongo era kati mumativu eri omutonzi. Yasiimye abantu bonna abamuyozaayozezza
okufuuka nnaalongo omwabadde omukulembeze w’eggwanga ne maama Janet Kataha Museveni , Katikkiro wa Buganda, Peter Mayiga ne Bannayuganda abalala.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top