Uganda ekwataganye n’eggwanga lya South Africa okwongera kutumbula eby’obusuubuzi n’ebyobulambuzi bya mawanga gonna mu kaweefube w’okukulaakulanya Uganda.
Bino byanjuddwa Odrek Rwabwogo omuwabuzi wa Pulezidenti ku mirimu egy’enkizo era nga yakulira akakiiko akawi ka magezi eri pulezidenti ku bintu Uganda by’etunda wabweru w’eggwanga wamu ne ku bya makolero ng’abadde mu lukung’aana lwa bannamawulire ku kitebe kya MTN ekisangibwa ku luguudo lwa Jinja Road.
Rwabwogo agambye nti omwoleso guno gugenda kubeeraawo wakati wa February 27 okutuuka nga March1, 2023 nga gwakubeera mu kibuga Pretoria e South Africa era nga gwakwetabwamu ne bapulezidenti ba mawanga gombi.
Ategeezezza nti Uganda etunda ebintu bitono mu ggwanga lya SouthAfrica ate ng’ebisinga mmere era mu mwoleso guno baagala okwongera ku mmere eno gye batunda e SouthAfrica omuli ennaanansi,Vanilla, emmwaanyi n’emmere endala.
Enid Edroma maneja avunaanyizibwa ku bakaasitoma ba MTN agambye nti Uganda nnungi okutandikamu bizinensi naye waliwo okusomozebwa ku mutindo ogw’emmere eva mu Uganda etwalibwa mu matendekero amalala n’olw’ensonga walina okutebwawo amateeka agaziyiza ebintu ebyo okugenda ku katale k’ensi yona.
Robert Mukiza akulira ekibiina kya bamusiga nsimbi ekya UIA ategezeza nti mwoleso guno gugenda kuyambako mu nkulakulana ya Uganda bayita mu byobusubuuzi