Amawulire

Ssaabasajja Kabaka yasiima naawayo ettaka bazimbireko ab’e Nansana eddwaliro

Beene yasiima naawa banna Rotary  be Nansana awamu ne Munisipaali ye Nansana ettaka bazimbeko eddwaliro  eriri ku mutendera gwa Health Centre IV kiyambe okutumbula eby’obulamu mu kitundu kino.

Ekyapa ky’ettaka lino kyabakwasibwa Omumyuka ow’okubiri owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda, Owek. Robert Waggwa Nsibirwa kulwa Katikkiro Charles Peter Mayiga, ku mukolo ogwali mu Bulange e Mmengo ku Lwokusatu.

“Nina essanyu okubategeeza nti nga tuyita mu Buganda Land Board enteekateeka yonna yawedde era ekyapa nga bwekyetaagisa mu mateeka nti gavumenti okutongoza eddwaliro lino wadde ligenda kuzimbibwa Rotary kirina kuba mu mannya ga Nansana Municipal Council era kyamaze okukolebwa nekizzibwa mu mannya go era olwa leero ngenda kukibakwasa,” Owek. Nsibirwabweyategeezza.

Owek. Nsibirwa yategeezza nti wadde ettaka lino liri mu kifo ky’ennono ky’embuga ya Nakuule naye embuga eno yasigaddewo ate nga ne woofiisi za Buganda Landa Board zisigaddewo ku mbuga eno

Ono yannyonnyola nti abantu beeyongedde mu Nansana ate n’enkulaakulana nayo ebadde ezze nga Buganda ebadde erina okukwatizaako gavumenti okutumbula embeera z’abantu mu by’obulamu n’ebyenfuna.

Owek. Nsibiirwa yategeezza  nti Buganda erina omukago ne Rotary nga wakati mu bwesimbu n’okubeera nti tebasosola mu bantu kyali kyangu okukwatagana nabo okuteekawo enteekateeka eno era nalabula nti singa likozesebwa ku nsonga endala lyakuddira Obwakabaka.

Owek. Nsibirwa era aynnyonyola nti  Beene yagenderera kutuusa bujanjabi obutuukiridde era obwomutindo ku bantu be Nansana  nebitundu ebiriranyeewo abali mu bwetaavu bwabwo .

Ye Pulezidenti wa Rotary y’e Nansana, Rebecca Namirembe yategeezza  nti  ensonga eno etuukira bulungi ku misingi Rotary kweyazimbibwa nti bakukola ekisoboka okuggusa omulimu guno kubanga gwakuyamba  bangi .

Ettaka eriweereddwayo lisangibwa Nakuule mu munisipaali  ye Nansana nga lisuubirwa okumalawo obuwumbi 5 billion era lisuubirwa okumala emyaka 5 nga lizimbibwa.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top