Amawulire

Ssabasumba Yonah Lwanga afudde akolimidde ekibiina Kya NRM

Ssabasumba Yonah Lwanga afudde akolimidde ekibiina Kya NRM

Omulambo gw’abadde ssabasumba w’aba  Othodox mu Uganda Metopolitan Yonah Lwanga gusubirea okutudubwa olesleero (,Mmanfe okusinziira kunfunayo olemetwree fddwa mu gwanga ku bbalaza yo okuva mu gwanga lye Buyonani gye yafiridde oluvannyuma lw’akaseera ng’atawanyizibwa ekirwadde Kya kokolo.

Ssabasumba Lwanga yafudde mukiro ekyakesezza olwomukaaga lwa wiiki ewedde, era omulambo gwe gusuubirwa okutuuka mu Uganda olwaleero ku (mmande)  era aziikwe ku eklezia e Namungoona, Lwanga yali yalaama kuziikibwa ku kyalo Degeya ekisangibwa mu gombolola ye Kalagala mu disitulikiti ye Luweero, kyokka abakulu munzikiriza eno okuva e Buyonani ne bakyuusa  mu kiraamu kye ne balagira aziikwe ku eklezia e Namungoona okuliraana gwe yaddira mu bigere Thedrolo Nankyaama ekiviriddeko abamu kubenganda za Lwanga okuva mumbeera olw’enkyuukakyuuka ezikoleddwa abakulu okuva e Buyonani nga ziva ku kiramo kye yaleka nti alina kuziikibwa e Degeya okumpi ne maama we, jajjawe gye yatandikira obusodoxi mu Uganda.

Lwanga abadde n’amwatulira eri abadde munnadiini atasilika ng’alina ekikyamu kyalabye kikolebwa, mu mwaka gwa 2008 ettemu bwe lyali lisusse mu gwanga, yali omu kubannadiini abasooka okuvayo ne batabukira  pulezidenti Museveni ne gavementi ye nga bwalemeddwa okukuuma bannna Uganda n’ebyabwe nga ssemateeka bwamulagira. Ono yagamba nti pulezidenti Museveni asiiba ategeeza eggwanga nga bwe balwana okusobola okuleeta emirembe, kyokka ekyabalwanya kibalemye okutuusa kubantu absttibwa. Lumu ssabasumba Lwanga bwe yali ayigiriza mu mmissa ya Christmas, yategeeza abakkiriza nga ye bwe yakoma okulonda mu mwaka gwa 1980 ng’akomyewo mu Uganda okuva e Buyonani.

Kyokka Paul Muwanga n’alangira Obote awo we yakoma era abadde taddangamu kulonda kuba tasuubira Uganda kubamu kalulu kabwenkanya okujjako ng’afudde. Enfunda eziwera, Ono era abadde ategeeza omukulembeze w’eggwanga nga bwe kiswaza okukulembera eggwanga lino emyaaka 40, kyokka nga talina muntu yenna gwategese agenda okutwala eggwanga mu maaso, n’ategeza ng’alinga ayagala eggwanga okutabuka ng’avuddewo.

Abadde musajja alwanirira ennyo eddembe ly’obuntu omwali ekitta bantu ekyaliwo nga poliisi ekutte pulezidenti wa NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu Bobi Wine mu Busoga bwe yali anoonya akalulu mu mwezi gwe kkumi n’ogumu omwaka oguwedde, era ajjukirwa okuba omu kubategeka okusaba omwali n’okusiiba eggwanga okusobola okuyita obulungi mu  kulonda okwemirembe, ekintu abakrisitayo kye bawakanya era okusaba okwo ne bakuzira.

Mu mwaka gwa 1997,olukiiko olw’okuntikko lwalonda Yonah Lwanga okubeera omukulembeze w’enzikiriza ya Othordox mu uganda era n’atuuzibwa.lwanga yabadde Ssabasumba ow’okubiri mu Uganda era nga ye yadda bigere bya ssabasumba eyasooka mu Uganda  Theodore Nankayaama, era agenze okufa abadde ategeka ekijaguzo kye myaaka 40 nga munnadiini ekibadde kigenda okubeerawo mu mwezi ogujja ogwe kkumi.

Paapa waba Orthodox okuva e Buyonani yalonze Bishop Makorios Andreas Tillyridis okuva e Kenya okugira ng’akulembera enzikiriza eno yeyakulembedde emikolo gyonna egyokuziika.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top