Amawulire

Ssegirinya ali ku maccupa gamusaayi.

Akulira oludda oluvuganya mu palamenti, Joel Ssenyoyi alambudde ku mubaka Ssegirinya ku kitanda e Nirobi n’ategeza nti abasawo bakola buli ekiri mu busobozi bwabwe okulaba ng’atereera.
Ssenyoyi yagenze e Nairobi ku Lwokun ng’ali ne Nampala w’ababaka b’oludda oluvuganya mu palamenti, John Baptist Nambeshe. Baategeezezza nti wadde baamulabyeko naye tebasobodde kwogera naye kubanga akyali mu kasengeka ICU.
Ssenyonyi yategeezezza nti okusinziira ku kunnyonyolwa kwe baafunye okuva mu basawo abajjanjaba Ssegirinya mu ddwaliro lya Aga Khan University Hospital nti edagala lye bamussaako limukolako bulungi n’awa essuubi nti yandikuba ku matu.
Abamujjanjaba baategeezezza nti ku lwomukaaga baamutaddeko omusaayi nga gwaweereddwayo kansala Thomas Bagonza ne Alex Luswa abaabadde bageze okumulambula, oluvanyuma lw’eddwaliro okuggwebwako omusaayi gwa Group A+.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top