Amawulire

Ssegirinya yalagiddwa okudda awaka.

 

Munnamateeka wa Muhammad Ssegirinya, omubaka we Kawempe North, Samuel Muyizzi agamba nti Ssegirinya ayongedde okunafuwa nga y’emu ku nsonga lwaki n’omulamuzi wa kkooti ewozesa emisango egiri ku mutendera gw’ensi yonna e Kololo mu Kampala, Alice Komuhangi, yayongezaayo emisango gye, egy’obutujju, obutemu, okugezaako okutta abantu n’emisango emirala okutuusa mu February 19th, 2024.

Ssegirinya ali ku misango egyo, ne Allan Ssewanyana omubaka we Makindye West ssaako n’abantu abalala okuli Jackson Kanyike, John Mugerwa, Bull Wamala ne Mike Sserwadda egyekuusa ku kitta bantu ekyali e Masaka mu 2021, omwafiira abasukka 20.

Wabula Munnamateeka Muyizzi, agamba nti Ssegirinya yasiibuddwa mu ddwaaliro e Nsambya gy’abadde ajjanjabirwa okuva November 6th, 2023  ng’abasawo balaga balemereddwa nga balina kumutwala mu ggwanga lya Netherlands, okutaasa obulamu.

Mu kkooti, Muyizzi yasobodde okuleeta ebiwandiiko by’eddwaaliro nga Ssegirinya alina okutwalibwa mu ddwaaliro lya University Hospital in Amsterdam nga yafunye n’olukusa lwa Palamenti nga 23, November, 2023.

Agamba nti mu kiseera wadde ali awaka, akyali munafu ddala nga tasobola kulinnya nnyonyi.

Agamba wadde balina okumutwala mu Amsterdam, omubiri gukyali munafu nnyo nga tasobola kulinnya nnyonyi mu kiseera kino.

Omulamuzi Komuhangi alagidde enjuyi zombi, okwetekateeka okusobola okutandiika okuwuliriza emisango mu bwangu ddala.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top