Amawulire

Ssegirinya yetaaga saala.

 

Omubaka wa Kawempe North, Muhammad Ssegirinya, agamba nti embeera eyongedde okumwonoonekera ng’obulwadde bwongedde okumunafuwa.

Ssegirinya, agamba nti abasawo, bongedde okuzuula ebintu eby’enjawulo omuli

– Ekibuumba ekyongedde okulwala nga kyonna kujjudde amabwa

– Yafunye obuzibu ng’essaawa ezimu avaako, nga tamanyi biri ku nsi

– Alina obuzibu bw’okussa

– Ate buli ssaawa, awulira ng’omutima gugenda okubuukamu.

 

Abekibiina kya NUP nga basabila omubaka Ssegirinya.

Ssegirinya, akyasobeddwa ekivuddeko obulwadde obweyongera ku myaka gye 35, ng’alowooza ayinza okuba ttiyaggaasi abadde amukubwa, bukya avaayo okwesimbawo ku bukulembeze okuva ku bwa Kansala.

Ng’asinzira mu ddwaaliro e Nsambya, agamba nti abasawo, bakoze kyonna ekisoboka, okutaasa obulamu naye ayongedde kunafuwa.

Ssegirinya, kabuze kata okulukusa amaziga, bw’ayogera ku bantu b’e Kawempe, beyali asuubiza ebintu bingi ddala naye olw’embeera, akyalemeddwa okubituukiriza.

Ssegrinya alina endwadde endala era agamba nti alina ne Kkansa w’olususu.

Gye buvuddeko yali mu ggwanga erya Netherlands ng’afuna bujanjabi wabula agamba nti yabadde alina okuddayo nga 10, November, 2023.

Mu kiseera kino agamba nti wadde abasawo b’e Nsambya bakoze buli kimu okumuwa obujanjabi, alina essuubi nti okuddayo mu Netherlands, kigenda kuyamba nnyo okufuna obujanjabi obusingawo.

 

 

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top