Akulira Uganda Airlines’ teyalabiseeko mu kakiiko akabuuliriza ku nkozesa y’ensimbi mu bitongole bya gavumenti aka COSASE nga agamba aliko emirimu egitalinda gyalina okukwasaganya.
Ssenkulu Jennifer Bamuturaki yasabye akakiiko kano kongezeeyo ensisinkano yabwe okutuuka mu wiiki ey’okubiri eya September era obubaka buno yabutadde mu bbaluwa gyeyatisse akulira eby’omutindo mu kitongole kino, Michael Kaliisa.
Abatwala kampuni eno era baagala eby’okubanoonyerezaako biggyibwe mu mawulire kuba gyebikoma okugenda mu maaso by’onoona ekitiibwa kya kampuni eno.
Bino webijjidde nga Ssenkulu w’ekitongole kino asisinkanye Ssaabawandiisi w’ekibiina ekitaba kampuni z’ennyonyi mu Afirika General, Abderahmane Berthé mu Kampala.
Okusinziira ku bakulira Uganda Airlines, ensisinkano eno egenda kwongera enkolagana era kitumbule entambula y’ennyonnyi okusobola okuganyulwa mu katale k’ensi yonna.
Wabula bino byatabudde Ssentebe wa COSASE, Joel Ssenyonyi nategeeza nti aba Uganda Airlines batandise okusaagira mu nsonga eno nga tekisoboka kusaba esazibwemu ku lunaku lwennyini lwebabadde basuubira.
Era ono yamuwandiikidde ebbaluwa emusaba okweyanjula eri akakiiko kano olunaku lw’enkya oba sikyo ensonga bajja kuzikwasa poliisi yeeba emunoonya.
Bino webijidde nga akakiiko ka COSASE kakyagenda mu maaso n’okunoonyereza ku kitongole kino oluvannyuma lwa alipoota ya Ssaababalirizi w’ebitabo bya gavumenti olw’emivuyo emingi egiri mu ntambuza yaayo ey’emirimu awamu n’ebisaanyizo byabo abagikulembera.