Amawulire

Ssente za Nabbanja zibizadde, bezitatuuseeko bagenda kumulumba mu woofiisi bamweyambulire bamusuulire n’abaaana

Ssente za Nabbanja zibizadde, bezitatuuseeko bagenda kumulumba mu woofiisi bamweyambulire bamusuulire n'abaaana

Ssente emitwalo 10 gavumenti zeyalangirira okuwa abantu abakoseddwa omuggalo zongedde okwogeza bannayuganda ebikankana naddala abo abaasuubira nti bebalina okuzifuna kyokka ne gyebuli kati tebannazifuna. Baweze nti singa enteekateeka eno eggwaako nga tebazifunye bagenda kukwekunga balumbe woofisi ye mu Kampala bamweyambulire bamusuulire n’abaana kubanga tebalina kyakubaliisa.

Aba boda boda mu Kira nga bakulembeddwa William Nkemba sipiika wa boda boda e Bweyogerere batabuse nebagamba nti bakooye okubafuula ekitagasa babonyeebonye ekimala. Baaganibwa okuvuga abantu okuziyiza okusaasaanya Covid basigale nga bavuga migugu gyokka ekintu kyebakkiriza nebasuubira nti gavumenti egenda kubadduukirira ne ssente zeyabasuubiza era ne bawandiisibwa amannya kyokka mu bantu bebaawandiisa abasoba mu 500 basatu bokka bebaakafuna kyokka bawulira nti gavumenti eri munteekateeka ya kukomekkereza ne balabula okulumba ofiisi ya Nabbanja bamweyambulire bamusuulire n’abaana abalabirire kubanga basibiddwa mu muggalo ate nga ne ssente tebazifunye.

Abatuuze b’e Nakawa ku byalo okuli Banda zooni 5 balumbye woofisi ya ssentebe waabwe ssaalongo Joseph Kakooza ne bamugamba ababuulire amannya gaabwe gebawandiika gyeyagateeka kubanga gavumenti eremereddwa okubatuusako emitwalo 10 gyeyasuubiza okusindikira abantu abawejjere ono bamutabukidde kwe kusalawo okudduka mu butale n’abafunira emmere ey’amangu omubadde akawunga, amatooke ne muwogo bagira balyako nga bwe balinda ssente za gavumenti.

Joseph Kakooza agambye nti buli lunnaku asanga abantu abasoba mu 100 nga bagumbye ku ofiisi ye nebamukanda emmere gyatalina nga n’abamu beewera nga bwebagenda okutandika okutigomya ebyalo banoonye kyebanaaliisa.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top