Amawulire

Ssentebe Samuel Oledo asambazze ebyogerwa nga bweyalekulidde ekifo

Ssentebe wekibiina ekitaba abasawo ki Uganda medical association Samuel Oledo asambazze ebyogerwa nga bweyalekulidde ekifo kye nategeeza nti siwaakwetonda kubanga talina niobium jeyakola. Ono agaamba byeyayogedde yabyogedde nga omuntu munakibiina ki NRM nga era ne bwasaanga omukulembeze we gwanga addamu era namufukamirira naamwebaza byabakoledde nga abasawo era okusaba okuddamu okwesimbawo nga Ono okwogera bino asinzidde mulukungana lwa banamawulire

Ku lwomukaaga lwa sabiiti ewedde, ssentebe wekibiina ekitaba abasawo mugawanga Samuel oledo yakulemberamu abamu ku basawo mukibiina kino nebafufamirira omukulembeze we gwanga kukisaawe e kololo nga bamwegayirira okukomawo yesimbewo mu mwaaka2026 mbu olwebyo byabakoledde nga abasawo neminstry yebyobulamu

Oluvanyuma lwabino abasawo abenjawulo mu kibiina kino baavaayo nga balaga obutali bumativu bwaabwe okusinziira kwekyo ekyakoleddwa era nga baagala oledo alekulire nti yavoodde eteeka lyaabwe kawayiro naamba 3 akabalagira obutaba nakyekubiira kuludda lwa byabufuzi. Kati Oluvanyuma lwenvuuvuumo okuyitingana nga oledo bweyalekulidde, Ono ayisse mbagirawo olukungaana lwa ba namawulire era naabisambqjja nti ye yaakyaali omukulembeze wekibiina

Oledo qgaamba kyebaakola ekyokufukamirira omukulembeze we gwanga  tekyakolebwa munsobi era siwaakwetonda wabula baali balaga obusiimu bwaabwe eri omukulembeze we gwanga gen yoweri kaguta museveni kweebyo ebirunji byakoledde minstry yebyobulamu wamu era naabasawo

Ono era akinoganyiza nti byeyayogera yabyogera nga ye omuntu ssekinoomu era muna nrm wabula naawera nti siinga qdamu okusisinkana omukulembeze we gwanga, era asobolera ddala okuddamu kyeyakola

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top