Amawulire

Ssentebe wa disitulikiti agobye omumyuka we.

Ssentebe wa LC5 e Mbale,Muhammad Mafabi agabye omumyuka we Tony Wamagale nga kigambibwa nti kivudde ku butakkaanya bwe baludde nga balimu naye nga tabijja mu lujjudde.

Wiiki ewedde,Mafabi yawandiikidde Wamagale ebbaluwa n’awaako kkopi CAO ne RDC kyokka teyalambise nsonga emugobesezza wabula yamulagidde okuwaayo ofiisi mu bwangu.

Wamagale era abadde akola ng’owebyensimbi era ssentebe yalagidde ekifo kino akiveemu mbagirawo.Wamagale eby’okumugoba yabiyisentalo za byabufuzi ezitalina makulu era tezirina gye zitwala disitulikiti mu maaso.Kyokka eggulo nga Wamagale yabadde akyali mu ofiisi.

Omwezi gwa April poliisi yatabuse n’abakulira disitulikiti e Mbale olw’okwagala okusengula abantu ku ttaka mu Industrial Division mu City y’eMbale embeera eno yaviirako Wamangale okuwaanyisiganya ebisongovu n’aduumira poliisi mu kitundu ,Denis Pahani.

Munnamateeka Peter Walubiri yategeezezza nti ,bwe babeera balonda omumyuka wa ssentebe,kkanso etuula n’eyisa ekiteeso era ne mu kumugoba abeera alina okutuuza olukiiko ne luyisa ekiteeso ekimugoba.

Wabula Munnamateeka Erias Luyimbaazi Nalukoola yategeezezza nti ssentebe omulimu gwe kulonda olwo kkanso n’ekakasa gw’alonze era asobola okumugoba n’alonda omulala.

 

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top