Amawulire

Ssentebe wa Kampala Land Board asindikiddwa ku alimanda e Luzira.

Ssentebe wa Kampala Land Board munnamateeka David Balondemu asimbiddwa mu kooti ya Kampala Capital City Authority Hall Court, n’aggulwako emisango egy’okweyita kyatali, n’adyekadyeka musigansimbi omu korea namunyagako ensimbi ezibalirirwamu obuwumbi bwa shs 2.2 ng’amusuubizza okumuguza Zzaabu (gold).

Balondemu asindikiddwa ku alimanda e Luzira gy’anaava okudda mu kooti yewozeeko.

Balondemu avunaanibwa ne munnamateeka Eric  Geoffrey Mkwe akyekukumye.

Kati Balondemu yegasse mu bantu abalala ababiri abaakwatibwa akakiiko ka Anti corruption Unit gyebuvuddeko okuli Mugisha James ne Maviri Godfrey ku nsonga ze zimu, era omulamuzi wa kooti ya KCCA yabasindika mu komera e Luzira okutuuka nga 25 October, lwebanadda mu kooti okwenyonyolako.

Kigambibwa nti munnansi wa  Korea nga ye  Hyun Uk Kim, nti  David Balondemu gweyasuubiza okuwa zaabu(Gold) era namuggyako emitwalo 600,000 eza Dollar za America, bwebuwumbi nga bubiri n’obukadde 200 eza shs za Uganda, nti kyokka zaabu gweyali amugambye ate naatamumuwa.

Okusinziira ku kakiiko k’amaka ga president aka Anti Corruption Unit akaamukutte, Balonddemu ne banne baalimba  Hyun Uk Kim nga bwebali bagenda okumuguza zaabu kilo 53, nga bino byaliwo wakati w’omwezi gwa March ne November 2021 ku office za Balondemu and company Advocates.

Omu Korea yakanya kulinda David Balondemu ne banne okumuwa Gold we nga tebalabikako, kwekusalawo okwekubira enduulu eri ebitongole ebikwatibwako omuli n’akakiiko ka State House Anti Corruption Unit akakutte Balondemu.

Balondemu bw’abadde aleeteddwa mu maaso g’omulamuzi Edgar Karakire abyegaanye nti bamusibako matu ga mbuzi, era bannamateeka be okuli Evans Ochieng ne Mukasa Mbidde omuntu wabwe ayimbulwe ku kakalu ka kooti.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top