Ssentebe w’abagoba ba bodaboda mu muluka gw’e Luzira, John Kayondo awanjagidde gavumenti okwongera amaanyi mu kulondoola abagoba ba bodaboda.
Ategeezezza nti ono y’omu ku kaweefube w’okutebenkeza omulimu gwa bodaboda nga bwe baakola ku birwadde nga Corona ne Ebola.
Kayondo ategeezezza nti omulimu gwabwe ogwa bodaboda gwonooneddwa nnyo bannakigwanyizi abatalina na bisaanyizo nga bano be batigomya abantu nga beerimbika mu mulimu guno.
Yayongeddeko era nti gavumenti ezze evaayo n’ekwata ku bizibu ebiruma bannansi nga naye kyennyamiza nti wakyaliwo ebirumira mu mulimu gwa bodaboda.
Ategeezezza nti ekisinga okubaluma be bantu naddala abavubuka abakozesa ppikippiki mu matumbibudde okunyaga abantu nga n’oluusi tezibeera na bisaanyizo.
Kayondo asabye ab’obuyinza be kikwatako okuttukiza ebikwekweto ku bodaboda zonna ezitalina bisaanyizo kubanga y’emu ku ngeri gye bayinza okutereezaamu omulimu gwabwe.
Kyokka yennyamidde olw’enteekateeka za gavumenti ezimu ezireetebwa okutereeza omulimu gwabwe ng’ate zikola akabanga katono ky’agamba nti basaanye okukyetegereza babeereko n’enkola ze banywererako.
Asabye bassentebe b’ebyalo okukakasa nti siteegi zonna mpandiise kiyambeko okutereeza n’okutebenkeza omulimu gwabwe.