Amawulire

‘State House Health Monitoring Unit’ eyingidde mu nsonga z’omusajja alumiriza abasawo okumuggyamu ensigo

Akakiiko akalondoola eby’ obulamu mu maka g’ Obwapulezidenti aka  State House Health Monitoring Unit kayingiddde mu nsonga ‘ omuvuzi wa boodabooda alumiriza eddwaliro lua Olda Kampala okumuggyamu ensigo ye nga tamanyi.

Aba State House Health Monitoring Unit  nga bakuliddwa, Dr Wilson Namara,  kati bawandiikidde abavunaanyizibwa ku basawo aba Uganda Medical and Dental Practioners Council  okunoonyereza ku nsonga eno mu bwangu bamanye ekituufu era bafulumye alipoota ku nsonga eno.

Wabula Dr Wilson Namara ategeezeza nti bannayuganda balina okukimanya nti wano mu Uganda kikyali kizibu  okuggyamu ensingo mu muntu neweebwa omulala olw’obutaba na bumanyirivu na busobozi bumala okukyusa ebitundu by’omuntu.

Kino kiddiridde Muhamood Kabanda, ow’emyaka 25 alumiriza nti bweyaddusibwa mu ddwaliro lya Old Kampala Hospital oluvannyuma lw’okufuna akabenje, yagibwaamu ensigo ye mu ngeri etaategerekeka.

Kabanda alumiriza nti  yagenda okudda engulu ng’alina olukindo ku lubuto ekiraga nti yalongoseebwa mu lubuto wadde ng’obuvune yali abufunye ku mutwe.

Oluvannyuma lw’okusiibulwa ku Old Kampala yasigala yebuuza olukindo lweyali afunye ku lubuto era bwatyo kwekugenda mu malwaliro naddamu okwekebejjebwa era nekizuulibwa nti ensigo ye emu yali eggyiddwamu.

Bino webijidde nga Palamenti yakayisa etteeka erikkiriza amalwaliro mu Uganda okusimbuliza ebitundu by’omubiri okuva mu muntu omu okudda mu mulala.

Era waliwo akakiiko akagenda okuteekebwawo okusobola okulambika amalwaliro ku nsonga eno era gakusookanga kufuna lukusa nga teganakola kino.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top