Rashid Kasumba amanyiddwa nga Swahaba Kasumba omuyimbi w’ennyimba z’Amataali ayimbuddwa ku bukwakkulizo obukakali okuli n’okubowa eby’obugagga bye singa tamalaayo ssente zimubanjibwa.
Okuyimbulwa kiddiridde enjuyi zombi okutuuka ku nzikiriziganya n’ayimbulwa ng’asasuddeko obukadde busatu ku 16 ezibadde zimubanjibwa.
Kasumba yakwatibwa wannyondo Stephen Ssempijja Kalyango wiiki ewedde ku Lwokuna oluvannyuma lw’okulondoolebwa ebbanga nga yeebulankanya.
Ono yasimbibwa mu kkooti y’omulamuzi w’eddaala erisooka e Mengo Docus Zoka, eyamusindika mu kkomera e Luzira olw’okuba omulamuzi Michael Bbosa aguli mu mitambo yali taliiwo.
Okuva olwo azze aleetebwa mu kkooti nga ssente teziwera, okutuusa bwe batuuse ku nzikiriziganya ayimbulwe asasule mu bitundu ng’ava waka.
Ab’enganda za Kasumba bawanjaze ne beegayirira abaamukwata okubataasa era mu kwekubakuba ne baweza obukadde busatu kwe bagenda okutandikira nga bamalayo ezisigadde.
Kasumba yeewola obukadde 15 okuva mu Nyevutovu Investment LTD mu 2022 n’asasulako akakadde kamu nga October 26, 2022 lwe yali yakoma era azze anoonyezebwa okutuusa lwe yakwatibwa n’asimbibwa mu kkooti eyamulagira okuzisasula kw’ossa n’ezaasasanyibwa mu musango okuweza obukadde 16,820,000.
Ono ku Lwokubiri yasimbiddwa mu maaso g’omulamuzi Michael Bbosa eyabatadde mu kafubo ne beesonda akakadde kamu abaamukwata ne bakagaana, omulamuzi n’abawa essaawa endala bbiri okutuuka ku kukkaanya oluvannyuma kwe batuuseeko n’ayimbulwa.
Muhammad Muwonge muganda wa Kasumba akakasizza nti muganda we alina amabanja agamutudde mu bulago era asinzidde wano n’asaba oyo yenna alumirirwa Swahabah amutaase awone ebbanja.
Daniel Mayanja, Puliida wa Nyevutovu ategeezezza nti omusango guwedde wabula n’alabula Kasumba nti teyeeyibaala n’adda ebweru okuyinaayina kuba ebbanja singa limulemerera kkooti ebawa obuyinza okukwata ku by’obugagga bye ne beesasula.