Amawulire

Taata abadde asobya ku muwala we mu loogi awanye okuffa.

Poliisi y’e Jinja ekutte taata ku misango gy’okudda muwana we namusobyako.

Taata Paul Mwanje nga mutuuze mu zzooni y’e Katende e Bugembe mu kibiga Jinja yakwatiddwa, era atwaliddwa ku kitebe kya Poliisi e Bugembe.

Mwanje abadde asobya ku mwana we myaka 14 nga amutwala mu loogi kyokka n’awaka abadde atandise okumusobyako.
James Mubi, omwogezi wa Poliisi mu kitundu kye Kira, agamba nti mukyala wa Mwanje yagenda ku kyeyo omwaka oguwedde ogwa 2023.

Mubi agamba nti okunoonyereza kulaga nti Mwanje abadde atwala muwala we okumpi ne loogi ng’amugulira eby’okulya omuli Chipusi, enkoko n’eby’okunywa omuli ssooda oluvanyuma namutwala mu loogi.
Mu loogi, abadde yakamutwala emirundi 7 ate awaka abadde yakamusobyako emirundi 2.

Mu kunoonyereza kwa Poliisi, kizuuliddwa nti awaka, taata wadde alina abaana basatu (3), abadde asukkiridde okusosola mu baana nga tafaayo ku baana balala.

Mu kiseera kino, taata ali mu mikono gya Poliisi ku misango gy’okusobya ku mwana omuto.
Poliisi egamba nti balina okunoonya omugagga nannyini Loogi, Maneja wa loogi, abakozi ku loogi ssaako ne loogi okugalwawo.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top