Amawulire

Taata asse famire ye.

Poliisi mu disitulikiti y’e Kween ekutte taata ku misango gy’okutta mukyala we ssaako n’omutabani.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Sipi, Fredmark Chesang, taata akwatiddwa ategerekeseeko erya Chesuro, nga mutuuze mu katawuni k’e Branch mu Tawuni Kanso y’e Binyiny mu disitulikiti y’e Kween.
Okunoonyereza kulaga nti Chesuro yakubye mukyala we Sophie Cheboriot akatebe ku mutwe era yafiiriddewo, oluvanyuma yakubye omutabani Elijah akasaale.
Oluvanyuma lw’okutta omukyala n’omutabani mu kiro, abatuuze bekozeemu omulimu ne bakwata omusajja era amangu ddala Poliisi yayitiddwa.
Chesang agamba nti emirambo gisindikiddwa mu ddwaaliro ekkulu e Kapchorwa okwekebejjebwa.
Ssentebe w’ekyalo Branch cell, Denis Moloki asabye Poliisi okunoonyereza ennyo okuzuula ekituufu ekyavuddeko ettemu kuba omusajja abadde talina buzibu bwonna ne mukyala we.
Agamba nga ssentebe w’ekyalo, abadde tafunangako kwemulugunya kwonna okuva mu famire ya Chesuro nti oba balina obuzibu bwonna nga famire.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top