Amawulire

Taata asse omwanaawe lwakuba ssente.

 

Omusajja mu disitulikiti y’e Kaliro akwatiddwa ab’obuyinza ku by’okukuba omwana we ow’emyaka 8 n’amutta olw’okumubba omutwalo 18000.

Omukwate ye Musa Musamali omutuuze ku kyalo Bamutaze mu town council y’e Kaliro.

Ssentebe wa LC1 mu kitundu kino Fred Kasolo yategeezezza nti omugenzi abadde muyizi wa pulayimale yakusatu ku ssomero lya Budini boy’s primary school mu town council y’e Kaliro.

Kasolo agamba nti omutemu yakubye omugenzi ng’akozesa emiggo ne jjambiya ekyamuviriddeko okuvaamu omusaayi mundaekimuvirideko okufa.

Agattako nti omutemu akwasiddwa poliisi okumubuuza ebibuuzo.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top