Omu ku bammemba b’ekibiina kino agamba nti:Abalimi n’abalunzi tusanze okusoomoozebwa kungi okuleeteddwa enkyukakyuka mu mbeera y’obudde tekosa balimi bokka wabula n’abalunzi.
Enkoko zibeerawo nga zirya mmere ate n’okunywa amazzi.Emmere bweneebula olw’ekyeya n’amazzi ne gabula n’okulunda tekujja kubaawo.
Kye tulina okukola nga Bannayunda nga ne gavumenti etukwatiddeko,kwe kuteekawo kaweefube ow’okuzzaawo obutonde bwe’ensi naddala nga tusimba eimti ginnansangwa ng’emituba, emisizi n’emirala.